Ebyobulamu
Lunaku lwa Kabuyonjo mu nsi yonna
Olwaleero lunaku lwa kabuyonjo mu nsi yonna.
Mu Uganda abantu obukadde 11 ku bantu obukadde 34 beebatasobola kufuna mazzi mayonjo
Okusinziira ku minisita akola ku mazzi n’obutonde bwensi Ephraim Kamuntu agamba nti kino kyekivuddeko n’endwadde ng’ekiddukano, ne Bilharzia n’omusujja gw’omubyenda guyite Taifoidi
Minisita agamba nti abakyala n’abaana beebasinze okukosebwa
Kamuntu abadde ayogerera ku mukolo gw’okutongoza enteekateeka enayamba abantu mu byaalo okufuna amazzi amayonjo nga beewola ng’eno Postbank y’egiwomyeemu omutwe
Akulira banka eno Stephen Mukweli agamba nti bagaala abantu bongere okwetuusaako amazzi amayonjo ku nsimbi entonotono.