Amawulire

President Museveni wakuyamba abayidde

Ali Mivule

July 1st, 2013

No comments

Namungoona fire

President Museveni asuubizza okukwatiza ku bantu abakoseddwa omuliro e Namungoona.

President agamba nti kyannaku okulaba nti abantu baafudde kyokka era nasaba abavubuka okukoma okulwanyisa enteekateeka za gavumenti ez’okutondawo emilimu kubanga kyekivaako embeera eyavuddeko okufa

Omuwendo gw’abantu abakafa oluvanyuma lw’okwokebwa omuliro ogwavudde mu kimmotoka ekyabadde kitwala amafuta ne kyabika, gweyongedde.

Omuwendo gwenyini omutuufu gukyatankanibwa naye ng’abakafa basoba mu 30.

Okusinziira ku mwogezi w’eddwaliro e Mulago, Enock Kusasira, abantu ku 25 abatwaliddwayo bamaze okufa, kyokka nga n’abasdigaddeyo, embeera yaabwe eyungula ezziga.

Ab’enganda z’abagenzi abakyanoonya emirambo gy’abantu baabwe bakyetala mu ddwaliro basobole okugirondobamu.

Eggulo poliisi yategeezezza nti emirambo 15 gyafuniseeko banyinigyo era 5 ku gyo gyatwaliddwa.

Poliisi etaddewo ebifo e Mulago mu kifo omutuukirwa abalwadde n’walala okumpi ne poliisi abantu we basobola okulondamu abalwadde baabwe.

Abantu 29 be baafiiriddewo mu kiro ekyakeesezza olunaku lw’eggulo mmotoka y’amafuta namba KBC 361B bwe yayabise okluvanyuma lw’okutomerwa mmotoka ekika kya Noah namba UAS 374C ekyagaleetedde okweyongera okuyiika.

Kigambibwa nti tanka y’amafuta yabadde eriko akatuli akayisa ng’ettonya naye bwe yatomeddwa, olwo n’ezidda okunywa.

Yabadde tennakwata muliro, abavuzi ba bodaboda bangi ne bagyeyuna nga basena amafuta nga bakozesa ebikofiira byabwe eby’okumutwe, abalala bbaafu na bidomola, eyo omuliro gye gwabasangirizza mmotoka bwe yayabise.

Okusinziira ku poliuisi, mmotoka y’amafuta yabadde eyolekera lw’e Mbarara.

Akabenje kaagudde Namungoona kumpi ne Northernbypass.