Ebyobulamu
Uganda ekubiddwa mu mbuga lwa basawo
Gavumenti ya Uganda ekubiddwa mu mbuga z’amateeka lwakusalawo kusindika basawo 250 mu ggwanga lya Trinidad and Tobago.
Ettendekero erikola ku by’okunonyereza lyeriwaabye gavumenti nga ligamba nti kyenyamiza okulaba nti wakati mu bbula ly’abasawo mu ggwanga, ate abatono abaliwo gavumenti ekkirizza okubasindika ebweru
Atwala emirimu gya bannakyeewa mu ttendekero lino Raymond Mwesiga aha,agamba nti n’eggwanga lya Trinidad and Tobago liri bulungi okusinga Uganda nga kikyaamu ate okukotoggera obutaka
Bano bayise mu bannamateeka ba Kesigabo, Bamwine and Walubiri advocates nga bagamba nti ekyakolebwa gavumenti kyakusoka eggwanga
Nga 7th omwezi guno, minisitule ekola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga yategeeza nga bw’eriko abasawo 250 omuli ba naasi, abasawo n’abazaalisa beyali esindise mu ggwanga lya Trinidad and Tobago okulaba nti bayambako ebyobulamu byaayo n’okunyweeza omukwano oguli wakati w’amawanga gano gombi.