Ebyobulamu

Abakyala banyigirizibwa nnyo

Ali Mivule

November 24th, 2014

No comments

depressed woman

Kizuuliddwa nti kyangu nnyo abakyala abali mu bifo by’obuyinza okulaga obubonero bw’okunyigirizibwa emirimu gyebakola ate okusingako ku basajja

Mu basajja, kigambibwa okuba nti eky’okubeera n’obuyinza okugoba oba okuwandiisa abakozi abapya kibayamba okukendeeza ku birowoozo ate ekitali ku bakazi.

Eri abakyala, buli lw’agoba omukozi oba okuwandiisa omupya,asigala n’ebirowooza.

Okunonyereza kuno kukoleddwa ku bakyala n’abasajja 2800

Abakoze okunonyereza kuno bagamba nti kino kisobola okutereera ssinga abakyala bongerwa mu bifo by’obuyinza n’okwongera emirimu.