Ebyobulamu
E sembabule teri kabuyonjo
Abakulira eby’obulamu mu disitulikiti ye Ssembabule balaalise okuggala amaka agasoba mu 50 lwabutaba na zi kabuyonjo.
Ebyaalo okuli Misojo A, Kiganda ,Misenyi, Nambirizi, ne Kyemandwa nga byobba biri mu gombolola ye Mateete ne Mijwala byebyolekedde ekyokya lwakubulwa aka mugwanya.
Omukwanaganya w’ebyamazzi n’obuyonjo mu kitundu kino okuva mu minisitule y’ebyamazzi Joseph Mubiru ategezezza nga bwebazze balabula abantu bano wabula nga balinga abafuuyira endiga omulele.
Yye Joseph Ssebugwawo nga y’alambula eby’obulamu mu kitundu kino ategezezza nga kati ensiko bweyafuuka kabuyonjo z’abasinga .
Ategezezza nga enddwadde eziva ku bukyafu bwezijja okuzingako ekitundu singa abatuuze tebefaako .