Ebyobulamu
Kizaala ggumba asakiriddwa
Gavumenti etaddewo obuwumbi 622 okuyamba okutuusa enkola za kizaalaggumba ku bantu okwetoloola eggwanga.
Minisita akola ku by’obujjanjabi obusookerwaam Sarah Opendi agamba nti ensimbi zino zakukozesebwa mu myaka etaano egijja nga buli mwaka obukadde 39 zeezijja okukozesebwa
Opendi agamba nti ekigendererwa kyaabwe kwongera ku muwendo gw’abantu abafuna ekola zino okuva ku kakadde kamu mu emitwalo 70 okudda ku bukadde 3 mu emitwalo 70 omwaka 2020 wegunatukira
Minisita agamba nti kyebasinga okwagala kwekulaba nti buli musajja oba mukyala eyetaaga enkola ya kizaala ggumba agifuna n’ebyetaagisa