Ebyobulamu
abavuganya basiimye gavumenti ku Ebola
Akulira oludda oluvuganya gavumenti asiimye gavumenti olw’omulimu gw’ekoze mu kulwanyisa obulwadde bwa Ebola ne Marburg
Ng’ayogerako eri bannamawulire ku palamenti, Wafula Oguttu agambye nti minisitule yakola bulungi okwanguwa mu kuddukirira embeera ng’essaawo okukebera abantu ku kisaawe Entebbe ne ku nsalo.
Ono agamba nti Uganda efuuse eky’okuyigirako eri amawanga amalala agakyatoba n’ekirwadde kino.
Uganda omwaka guno yalumbibwa ekirwadde kya Marburg nekitta omuntu omu kyokka nga kyasobola okutaayizibwa.