Ebyobulamu
TB yeeyongedde
Omuwendo gw’abalwadde bwa TB ogweyongedde mu disitulikiti ye Lira gutandise okweralikiriza abasawo
Ebivaayo biraga nti disitulikiti eno terina waadi zissibwaamu bantu balina kafubo kale nga kyangu okusiiga ate abatabulina.
Addukanya emirimu gy’ekibiina kya Pentecostal Assemblies of God health unit Benjamin Okwir agamba nti disitulikiti yonna terina na ambulensi etambuza bakyala bagenda kuzaala.
Wano abajapan webasinzidde nga bayita mu kitebe kyaabwe wano okuwaayo emitwalo gya doola emitwaalo kkumi okuyamba abe Lira
Ng’assa emikono ku ndagaano, omubaka wa Japan mu Uganda junzo fujita agambye nti ensimbi zino baziwaddeyo okuzimba waadi enayamba okujjanjaba abalina endwadde ezitambula amangu ng’eya kafuba