Ebyobulamu
Obunene bulwadde
Okubeera omunene ennyo kitoola ku buwangaazi bw’omuntu emyaka munaana.
Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti ate ssinga omuntu ava buto nga munene kikosa obulamu bwe n’obuwangaazi.
Abakoze okunonyereza nga bava mu kibuga Montreal ekya Canada bagamba nti obunene bwongera ku ndwadde ezitali zimu omuli ey’omutima, sukaali,puleesa n’endala
Abakugu bagamba nti abantu bangi tebamanyi bulabe buli ku kubeera muzito ekisusse nga kyekisinga okubalemesa okwegerera okwewala okugejja ennyo.