Ebyobulamu
Abalina siriimu babikooye
Mu disitulikiti ye Butambala abantu abalina akawuka aka mukenenya bakaladde nebalabula abantu ababafuula eby’obulambuzi nga babasabirako obuyambi okuva e bunayira nti bakikomye bunambiro.
Bano nga bakulembeddwamu akulira ekibiina ekibataba abalina mukenenya ekya HIV forum Ssemaganda Lwanga.
Lwanga agamba nti bakizudde nti waliwo abantu abagenda ebunaayira nebasaba obuyambi nga bakozesa ebifananyi byaabwe,kyokka bwebafuna ensimbi tebaddamu kulabikako.
Ono agambye nti bagenda kukola olukalala lw’abo abaabanyaga babatwale mu b’obuyunza .
Okwogera bino abadde mu lukungana olw’okutematema mu mbalirira ya disitulkiti eno