Ebyobulamu

Yinsuwa ku byobulamu

Ali Mivule

December 12th, 2014

No comments

hospital in masindi

Abali mu byobulamu basabye gavumenti okussaawo yinsuwa eri abantu ba bulijjo okusobola okutereeza ebyobulamu.

Addukanya eddwaliro lya Bishop Caesar Asili erisangibwa e Luweero Ernestine Akulu agamba nti kijja kusobozesa abantu bonna okufuna obujjanjabi obwetaagisa

Ono agamba nti abantu abaweza ebitundu 80 ku kikumi tebalina bakozesa kubateerawo yinsuwa kale nga kibakaluubirira okufuna obujjanjabi nga balwadde.

Ebbago ly’etteeka ku yinsuwa y’ebyobulamu mu kadde kano liri mu palamenti era nga ssinga liyita, abantu bonna bakufunanga yinsuwa ku bulamu.