Ebyobulamu

Okwebaka kukira endya ennungi

Ali Mivule

January 5th, 2015

No comments

sleeping

Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti omuntu okwebaka obulungi era ekimala kisingako endya ennungi mu kukuuma omuntu nga mulamu.

Okunonyereza kuno kukoleddwa mu mawanga 23 ng’abantu ababeerayo abasinga bettanira okwebaka obulungi okusobola okukuuma emibiri gyaabwe nga miramu.

Kyokka era kyeyolese nti bwegutuuka ku kwebaka, abakyala bamanyi omugaso gw’otulo okusinga abasajja

Ng’ogyeeko okwebaka, abantu bakimanyi nti okulya obulungi kikulu era nga abakyala era beebasinga okweriisa obulungi.

Ng’ogyeeko okulya, era abantu bajjumbira okukola dduyiro  kyokka nga wano abasajja beebasinga okwefaako.

Okunonyereza kuno kwakoleddwa mu mawanga nga Indonesia, Buyindi, China. Mexico n’amalala.

Kyokka mu ggwanga lya Mexico, abaayo basing kukuliriza kukola dduyiro okusinga okulya obulungi n’okwebaka