Ebyobulamu
Obulwadde bwa Hepatitis B butabuse
Abakulembeze mu disitulikiti ye Paliisa balaze okutya olw’abantu abalwaala ekirwadde ky’ekibumba ekya Hepatatis B okweyongera.
Okusinga amagombolola okuli Petete, Opwateta ne Kameke gegasinze okukosebwa nga era abantu 10 bebalwala ekirwadde kino nga 3 baba bayi.
Akulira eby’obulamu mu mu disitulikiti eno Anthony Kalele agamba ekisinga okwenyamiza kwekuba nga abantu mu kifo ky’okugenda mu malwaliro bawoza babaloga nebeyunira amasabo.