Ebyobulamu
Waadi y’abaana n’abakyala
Pulezidenti Museveni azzeemu okweyama okutereeza ebyobulamu mu ggwanga n’okukola kyonna ekisoboka okukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya.
Obubaka bwa pulezidenti bwetikkiddwa amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi ku mukolo gw’okuzimba waadi y’abakyala n’abaana ku ddwaliro ekkulu e Masaka.
Sekandi agamba nti Uganda ekoze nnyo okulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya n’omusujja gw’ensiri kko n’akafuba nga kati obuufu bagend akubwoleekeza baakyala
Ono agamba nti gavumenti ekikakasa nti endwadde eziruma bannayuganda ezisinga zisobola okuziyizibwa ssinga abantu bagemwa n’okukuuma obuyonjo kko n’okusula mu butimba bw’ensi
Yye ekulira eddwaliro lye Masaka Dr. Florence Tugumisirize agamba nti waadi empya egenda kuyamba okutereeza empereeza y’emirimu ku ddwaliro lino.
Yye miinista omubeezu akola ku byobulamu Dr. Elioda Tumwesigye agamba nti gavumenti essira yakulissa ku kutumbula ebyobulamu okuva mu maka
Kino kisinze kusanyula omubaka omukyala owe Masaka Freda Mubanda agamba nti waadi eno egenda kuyamba nnyo abawala.