Amawulire
Ab’enganda za Omuyekeera Ongwen bakukkulumye
Ab’enganda b’eyabadde omu ku baduumizi b’abayeekera ba LRA abakulemberwa ssabayeekera Joseph Kony nga ono ye Dominique Ongwen baagala basooke bamukoleko emikolo gy’obuwangwa bamwambulule emizimu emibi nga tanatwalibwa kuwozesebwa mu kkooti y’ensi yonna.
Bano bagamba nti emikolo gino mu Acholi bagikola ku bantu abaali baawambibwa nebayingizibwa mu buyeekera okusobola okubambululako ebisiraani olw’ebivve byebaba bakoze nga bali mu buyeekera n’okubagobako emizimu egibatawanya .
Omu ku ba kojja ba Ongwen John Odong nga aweza emyaka 70 alaajanye wakiri babakirize okusiibula omwana waabwe n’okumwagaliza emikisa nga ayolekera kkooti y’ensi yonna.
Odong agamba mutabani waabwe y’awambibwa akyaali muto nga kale yadde yakola ebikolobero, okwewaayo kulaga nti y’abadde yemenye kw’ebyo byonna byeyakola.
Omwogezi w’amagye ga UPDF Lt Paddy Ankunda olunaku olw’eggulo y’ategezezza nga Ongwen bw’agenda okukwasibwa kkooti y’ensi yonna avunanibwe ku misango gy’okutyobola eddembe ly’obuntu gyeyazza.