Ebyobulamu

Okugema poliyo kutandikwa lwa mukaaga

Ali Mivule

January 15th, 2015

No comments

polio in Kabul

Minisitule y’ebyobulamu yakutandika ku lw’omukaaga okugema abaana obulwadde bwa poliyo okwetoola eggwanga lyonna.

Minisita w’ebyobujjanjabi ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti kawefube asakiriddwa ekibiina ky’ebyobulamu eky’ensi yonna wakuwemmenta obuwumbi obusukka mu 14

Agamba nti bagenda kubeera n’okugema mu disitulikiti eziwerera ddala 41 n’ezo eziri ku nsalo kubanga abazirimu bali mu bulabe bw’okufuna obulwadde buno.

Kawefube ono agenda okutandika ku lw’omukaaga wakumala ennaku 3 era ng’abaana bonna abali wansi w’emyaka 5 baakugemebwa

Opendi asabye abazadde okutwaala abaana bagemesebwe n’okwewala okweraguza nti okugema kubi.