Amawulire

PLE- aba Gavumenti bakyakola bubi

Ali Mivule

January 15th, 2015

No comments

school children outside class

Amasomero g’obwa nnanyini gakyagenda mu maaso n’okukola obulungi okusinga aga gavumenti yadde nga aga gavumenti gatuuza abayizi bangi

Ku baana abatuula , abayizi okuva mu masomero g’obwannanyini abasoba mu 35,400 pupils beebayitidde mu ddaala erisooka okuva ku bayizi ba gavumenti  25,500 abavudde mu masomero ga gavumenti

Mu ngeri yeemu era abayizi 6500 bokka beebagudde okuva mu masomero g’obwannayini ssonga nga 62,200 baavudde mu masomero ga gavumenti.

Wabula abayizi ba gavumenti bwegwatuuse mu ddaala ery’okubiri n’ery’okusatu eyo babadde ddala bangi

Ssabawandiisi w’ekitongole ky’ebigezi Mathew Bukenya agamba nti yadde wabadde okuseetuka mu masomero ga gavumenti, enkola y’abayizi ekyaali mbi ddala.

Kati ebyo bbyo nga biri bityo, maziga ku masomero ebigezo by’abayizi gyebikwatiddwa

Kuno kweli ne kiteezi church of Uganda ng’eno abaayo ffe tubawadde amawulire g’okukwatibwa kw’ebigezo byaabwe

Tutuseeko ku ssomero lino ng’abasomesa nabo bibasobedde kyokka ng’akulira essomero tabaddeewo

Betwogeddeko nabo kyokka nga batusabye obutabatuula manya, bagamba nti bakulinda akulira essomero abagambe ekiddako

Yyo gavumenti etaddewo olunaku lwa nga 30 ne 29 okusunsulirako abanaagenda mu siniya esooka

Minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo agamba nti kino kigenda kukolebwa eri abayizi abaayise ebigezo.