Amawulire
Akalulu ke Busia kakutte akati- abeesimbyeewo bawera
Akakiiko akalondesa kamaze okuweereza ebinakozesebwa mu kulonda ssentebe wa distulikiti ye Busia ku lw’okuna.
Okuddamu okulonda mu kitundu kino kwaddirira kkooti okugoba Ouma Adea eyali ssentebe nga bamulanga kuvvoola ofiisi ye.
Akulira akakiiko kano Eng Badru Kiggundu agamba nti okulonda kwakutambulirira ku mazima na bwenkanya era abesimbyeewo bonna ne bannabyabufuzi kko n’abalondoola ebintu balina okugoberera amateeka.
Ono alabudde abeesimbyeewo ku kwetaba mu bikolwa by’okubba akalulu n’ategeeza nga bwebassizzaawo emmeeza enaakola ku kwemulugunya kw’ekika kyonna.
Bbo aba DP abasimbyeewo Deo Njoki balabudde akakiiko akalondesa ku lukalala lw’abalonzi lwebagamba nti lwandibaamu ebizibu.
Akulira ekibiina kya DP Nobert Mao agamba nti okusinziira ku kunonyereza kwebaafunye, abalonzi abasoba mu 5000 babicupuli
Abantu babiri beesimbyeewo nga DEo Njoki wa DP era abavuganya bonna gwebawagidde ne Stephen Wanyama owa NRM.
Bbo abavuganya gavumenti bakakafu nti omuntu waabwe wakuwangula .
Loodimeeya Erias Lukwago agamba nti basazeewo okugumba e Busia okutuuka lwebajjayo obuwanguzi.