Ebyobulamu
Okugema awamu tekutuuse
Okugema kwa poliyo okw’ekikungo okumaze ennaku ssatu mu ggwanga lyonna kukomekerezeddwa nga waliwo disitulikiti ezitagemye baana bonna
Mu Butambala omukungu wa ssabasajja Jimmy Kamuli Ssali abadde mu kulondoola okugema kuno, agambye nti yadde nti wadde mu byaalo bye Butambala ne Gomba basobodde okumaliriza obulungi, mu bibuga si bwegubadde
Wabula yo mu disitulikiti ye Wakiso okwawukanako ne mu zi disitulikiti endala, waliyo ebitundu ebitalabye na k ubasawo olw’obungi bw’abantu nga mu gombolola ye Nabweru, Kira, Nsangi, Ssabagabo Makindye, Nansana Town Council n’awalala nga kino kivudde ku basawo ababade abatono.
Okusinziira ku akulira eby’obulamu mu disitulikiti eno, Dr Emmanuel Mukisa, yadde nga disitulikiti eno eriranye Kampala, olw’obutabaawo mpuliziganya emala, abantu bangi babatawanyizza nnyo era nebatuuka n’okubateekako ekifuba