Ebyobulamu
Kiruddu, Kawempe gaggwa mwaka guno
Okuddabiriza eddwaliro lye Kiruddu ne Kawempe kwakumalirizibwa omwaka guno.
Atwala ebyobulamu mu KCCA, Dr. David Sseruka agamba nti amalwaliro gano gakugaziyizibwa nga gakola ku bantu abawerako era nga gakubaamu ebitanda 400.
Sseruka agamba nti luli babadde bakola ku bantu emitwalo 29 kuva ebweru, nga bazaaza abakyala omutwalo gumu mu enkumi ssatu ,n’abanywa eddagala emitwalo ebiri mu kenda
Sseruka mukakafu nti ebintu byakutereera babe nga bakola ku balwadde abawera