Ebyobulamu

Abakyuusa emibiri gyaabwe bakendedde

Ali Mivule

January 26th, 2015

No comments

Implants

Omuwendo gw’abantu abalongoseebwa okugezza oba okukozza ebitundu by’emibiri gyaabwe gukendedde mu Bungereza

Ekibiina ekigatta abasawo abakola okulongoosa kw’ekika kino beebafulumizza alipoota eraga nti mu mwaka 2014 abantu emitwalo ena n’ekitundu beebalongoosebwa okuva ku mutwalo etaano mu mwaka gwa 2013.

Okugezza amabeere n’okusongoza enyindo byebasinga okwettanirwa kyokka nga nabyo bw’otunula emabega byakendeera.

Mu bakyala okugejja amabeera kyekyasinga neera kyokka nga mu basajja okugattako obukoowekoowe kyekyasinga okulabikako.

Omu ku bakugu mu kulongoosa Rajiv Grover agamba nti amawulire agazze gafuluma ku ngeri ebintu bino gyebikosa obulamu bw’abantu gatiisizza bangi nebabyewalira ddala.

Kiddiridde era okuzuuka nti abakyala bangi enyama ebassibwaamu emala n’evunda nebafunamu endwadde nga kokoolo