Amawulire
Abadde ayagala okwegatta ku poliisi efudde, abe Karamoja beekalakasizza
Poliisi ye Fort Portal etandise okunonyereza ku nfa y’omukulu w’essomero erimu okuva e Bundibugyo eyatondose nga akola duyiro w’okugesezebwa okuyingira poliisi.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Rwenzori Bakari Muga Bashir ategezezza nga omugenzi Steven Bwampu bweyatondose n’afa oluvanyuma lw’okudduka nga y’abadde abuukabuuka ne banne mu bitundu bya Rwenzori.
Bwampu y’abadde amyuka omukulu w’essomero lya Christ SS mu disitulikiti ye Bundibugyo.
Okusinziira ku Bakari, Bwampu y’atondokedde mu kisaawe kya Mpanga SS n’addusibwa mu ddwaliro lye Fort portal nga eno gyeyalangiriddwa nti y’abadde afudde.
Poliisi ekyalinda byavudde mu kwekebejebwa kw’omulambo okutegeera ekyaviiriddeko okufa kw’omugenzi.
Mungeri yeemu wabaddewo katemba e Moroto gyebabadde bawandiikirira abantu okuyingira poliisi, ababaka ba palamenti ab’ekitundu kino bwebalumbye abawandiisa babanyonyole ku bigambibwa nti bawandiisa abatali bakaramoja.
Omubaka wa Dodos East Samson Lokeris ategezezza nga bwebaafunye amawulire nti waliwo abatali bamu kitundu kye Karamoja abawandiisibwa okutwala ebifo by’abaana b’awaka.
Lokeris nga era ye ssentebe w’omukago gw’ababaka abava mu bitundu bye Karamoja wamu ne banne abalala 4 okuva mu kitundu kino bagumbye webawandiisiza abapoliisi okumala eddakiika 20 nga bwebogeregeranya n’akuliddemu okuwandiisa mu kitundu kino Felix Ndyomugyenyi ku nsonga eno.
Wabula Ndyomugyenyi ategezezza nga okuwandiisa bwekutaliimu buli bwanguzi wabula n’ategeeza nga abantu bwebatajumbidde kwewandiisa mu kitundu kino olw’obuzibu bw’entambula.
Ate bbo abaagala obwa ofiisa Cadeti bano nga beb’eddaala eryawaggulu wano mu Kampala banji okusukka mu namba eyetaagibwa okuva mu ggwanga lyonna.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango ategezezza nga bwebakyakumunta abaasabye bonna okutuusa nga bafunye omuwendo gwebeetaaga.