Ebyobulamu
Ekyuuma ky’abe mbuto kituuse
Eddwaliro lye Mulago lyakufuna ekyuuma ekinakola ku ndwadde ezitali zimu ezikwata ku by’okuzaala by’abakyala.
Akulira eddwaliro lino Dr. Byarugaba Bateerana agamba nti mu kuddabiriza eddwaliro lye Mulago okugenda mu maaso, essira lissiddwa ku nsonga za kuzaala bya bakyala.
Dr.Bateerana agamba nti ebyuuma ebisinga ebiri mu ddwaliro bya myaka gya 60 ate nga kati aantu beeyongera.
Ono agamba nti bakola ku bakyala bangi ku byuuma bino, ekintu ekikosa empereeza.