Ebyobulamu
Ebifo ebikebera endwadde bitono nnyo
Minisitule y’ebyobulamu yakwongera ku bifo ebikeberebwaamu endwadde ezitali zimu.
Kino kiddiridde okwemulugunya nti ebifo bino bitono ddala ekikereeya obujjanjabi kubanga okukeberebwa kuba tekunnakolebwa
Kamisona akola ku kuziyiza endwadde, Alex Opio agamba nti bandyagadde okubeera n’ekifo ekikeberebwaamu endwadde mu buli disitulikiti kyokka nga tekisoboka
Dr Opio agamba nti mu ggwanga lyonna mulimu ebifo 77 okwetoloola eggwanga lyonna era nga bino tebimala.
Kino kikalubiriza abalina okukebera endwadde oba okuzinonyerezaako ng’emirundi egisinga ebintu bikereewa