Amawulire
Katikkiro akuutidde ab’amagombolola
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaami ba Ssabasajja abajja ab’amagombolola okwewaayo okukola emirimu gya Ssabasajja nga tebekuluntaza.
Katikiro okwogera bino abadde atongoza abaami ba Ssabasajja abajja 172 abalondebwa ku nkomerero ly’omwaka oguwedde.
Owek Mayiga agambye nti okuweereza Ssabasajja si mulimu gyabwanakyewa wabula bakolerera kitibwa kyabwe.
Mayiga agambye nti abaami ba Ssabasajja aba magombolola y’entabiro y’okuzza Buganda kuntikko, naddala ng’abakuumi enono, n’ebintu bya Buganda mu magombolola gyebagenda okulamula.
Kko akakiiko ak’enjawulo akassibwawo obwakabaka bwa Buganda okunonyereza ku ngeri emirimu gyegitambuzibwamu mu masaza gonna kaliko byekazudde mu ssaza ly’e Buwekula ebiyinza okuliremesa okutambula.
Akakiiko kano akakulirwa Owek. Godfrey Male Busuulwa kakizudde ng’ebizimbe ebiri ku mbuga y’essaza e Buwekula bwebiri mu mbeera embi ebisinga enkuyege zibiridde nga ne kabuyonjo zaggwaawo dda.
Oweek Male Busuulwa wabula agamba nti waliwo essuubi nto ebintu bisobola okutereera ssinga wabaawo okukwatira awamu.