Amawulire
MUfti yetondedde abayisiraamu
Mufti wa Uganda Sheik Shaban Mubajje olwaleero yetondedde abayisiraamu bonna olw’ensobi z’akoze mu myaka 20 egiyise
Mu kusaba okw’enjawulo okw’obumu okubadde ku muzikiti gwa kampala mukadde, Mubajje asuubizza nti essuula empya egenda okuggulwaawo.
Mu kusaba kuno Sheikh Sulaiman Kakeeto, Amir Ummah Yahaya Ramathan Mwanje n’owa sipidika balangiridde nga bwebazzeemu okukolagana.
Wabula yadde nga bano basabidde obumu, amyuka supreme mufti Muhammad Kibaate agambye nti tewajja kubaawo kwegatta kwonna okutuuka ng’ebintu by’obusiraamu biteredde.
Bino abyogeredde ku muzikiti e Kibuli mu kusaba kwa Juma ng’ono agamba nti abo bonna ababba eby’obusiraamu balina okubonerezebwa.