Ebyobulamu
E Buwama bazaalira ku tooki
Eddwaliro lya gavumenti e Buwama liri mu mbeera mbi lwa bbula ly’amasanyalaze.
Eddwaliro lino libanjibwa ensimbi ezisukka mu kakadde akalamba nga era bamaze ebbanga nga bali mu kibululu oluvanyuma lw’amasanyalaze gano okusalibwaako.
Ekikwaasa ennaku bannakazadde b‘eggwanga bazaalira ku tooki n’amataala g’emikono nga era abamu bajjibwako ensimbi eziri wakati w’olukumi n’enkumi ebbiri okugula amafuta oba obusubbaawa okumulisa nga bazaala.
Hellen Nakalawa omutuuze ku kyalo Bulijja agamba yagenda okuzaalira mu ddwaliro lino abasawo nebamusaba ssente okugula obusubbaawa obw’okulabisa nga bamuzaalisa.
Ebyembi ne solar ekozesa amaanyi g’enjuba eyaweebwayo minisita Amelia Kyambadde yabibwaako ebyuma kale nga kati kizikiza kyenyini.
Atwala eddwaliro lino Emma Nanyumba akakasizaa ekizibu kino wabula n’ategeeza nga bwekikolebwako nga essaawa yonna amasanyalaze gakuddizibwako.