Amawulire
Emikolo gya Terehesita Gigenda mu maaso
W’owulirira bino nga emikolo emikulu egy’amagye egya Tarehe Sita egy’omulundi ogwa 34 gitandise wali mu disitulikiti ye Moroto.
Abakungu ba gavumenti okuli ne ssabaminisita w’eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda, akola nga ssabalamuzi mu kiseera kino Steven Kavuma n’abalala batuuse dda ewali emikolo gino.
Yye ssabaduumizi w’eggye ly’eggwanga Gen Katumba Wamala ategezezza nga bannayuganda bwebasanye okwenyumiriza mu ggye eririwo kati olw’emirigu lyegikola.
Ategezezza nga UPDF bweyava mu NRA nga eggye eryempisa era erikolagana ne bannayuganda bonna sso ssi abantu b’olubatu.
Katumba era azzemu okukkatiriza nti yadde nga UPDF eyamba okukuuma emirembe ku muliraano, tebalina kigendererwa kyakusindika magye mu Nigeria kulwanyisa bakambwe ba Boko Haram.
Anyonyodde nti amawanga mu bugwanjuba bwa Africa galina amagye gaayo ag’omukago aghasobola okwanganga abakambwe bano sso ssi UPDF.