Ebyobulamu
Lunaku lwa Kondomu
Leero lunaku lwa kutumbula kukozesa bupiira bukalimpitawa buyite kondomu
Abakugu mu byobulamu kati bawanjagidde abantu okukozesa obupiira okukuuma obulamu bwaabwe era nga beeyagala.
Akulira ekibiina kya Straight Talk Foundation Susan Ajok, agamba nti abavubuka bangi bakimanyi nti siriimu atta kyokka nga tebafaayo kukozesa bupiira
Ono era agamba nti obupiira buno buyamba n’okuziyiza embuto naddala eri abavubuka abatannaba kwetuuka
Bbo aba straight talk foundation batongozezza kawefube w’okusonda obuwumbi bibiri okusomesa abavubuka ku byobulamu ebituufu
Enteekateeka eno ey’emyaka etaano ekigendererwa kyaayo kulaba nti abavubuka tebafuna mbuto nga tebannaba kwetegeka