Amawulire
Teri Kakuyege ng’okulonda tekunnaba kutuuka
Ekibiina kya NRM kitabukidde ba memba baakyo abatandise okuyigga akalulu ng’ekiseera tekinnaba kutuuka
Ekibiina kino kigamba nti memba yenna asangibwa ng’ayigga akalulu ng’obudde tebunnatuuka wakujjibwa mu lwokaano n’okubonerezebwa mu ngeri endala nnyo
Bino ababaka babituseeko mu lusirika olufundikirwa olunaku lw’enkya e Kyankwanzi oluvanyuma lw’ababaka okubadde omubaka we Kyanknwazi Jalia Bintu okutegeeza ng’abamuvuganya bwebatandise okumulwanyisa okuva wansi.
Ababaka bano bagambye nti ababavuganya babadde bayita mu bitundu byaabwe nga bayisa obubaka obubalwanyisa ekintu ekimenya amteeka
Wabula yye amyuka ssbawolereza wa gavumenti Fred Ruhindi agambye nti omuntu asobola okufulumya obubaka bwonna kasita talaga nti agenda kwesimbawo
Ssabawandiisi wa NRM Justine Lumumba agamba nti wakusindika obubaka buno ku bitebe bya NRM byonna okulabula abo ababadde bakikola.