Ebyobulamu
Ayise ku lugwaanyu
Mu ggwanga America omukazi awonedde watono okujibwamu ebitundu bye ebyomunda bwazuukuse nga abasawo bamubaaze batandika okubijamu.
Colleen Burns41- yatwaaliddwa mu ddwaliro ku lunaku lwa sande oluvanyuma lwokumira amakerenda nagamukanula.
Oluvanyuma abasawo baategeezezza nga omukyaala ono bweyabadde omufu, olwo nebajawo ebyambe namakansi nebatandika okumubaaga.
Nga tebanamaliriza nakyaala ono azibudde amaaso olwo abasawo nebibasobola.
Abasawo bategeezezza nga bwebabadde bagenda okumujamu, ekibumba, nensigo babigabire abantu abatawanyizibwa obulwadde bwebitundu ebyo.