Ebyobulamu
Siriimu ali mu Uganda avuluuja
Kizuliddwa nga Uganda bwekyakulembedde ku ssemazinga wa Africa mu bantu abapya abakwatibwa siriimu buli lunaku.
Akulira akakiiko akalwanyisa siriimu mu ggwanga aka Uganda AIDS commission Dr. Christine Ondoa ategezezza nti mu Africa abantu kimu kyakubiri abakwatibwa siriimu bava mu Uganda.
Kino akitadde ku bantu kubeera nga beegatta n’abagaalwa abasukka mu omu ssaako n’obugayavu mu kulwanyisa ekirwadde kino.
Agamba abantu bangi tebekebeza siriimu ono nga ate beyongera okwegadanga ekiviiriddeko abantu abapya nga bawerera ddala 380 okukwatibwa siriimu buli lunaku wano mu ggwanga.
Ondoa agamba akakiiko k’akulira kakutongoza ekifo ekigenda okuba nga kiwa amawulire n’ebirala ebikwata ku kirwadde kya mukenenya.