Amawulire
Envunza zirumbye ebe Nakapiripirit
Abantu abasoba mu 800 mu disitulikiti ye Nakapiripirit batambula babebera oluvanyuma lw’envunza okulumba ekitundu.
Ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko Namalu, Loregae, Kakomogole ne Nakapiripirit town council nga eno abasinga bayimba mabebere mpa ku nvunza.
Oku ku bannakyewa mu by’obulamu ku kyalo Kakomogole nga ono ye Betty Loukae agamba abaana tebakyasobola kutambula bulungi sso nga abakadde bbo okutuula kuzibu.
Ssentebe w’e gombolola ye Namalu nga ono ye Simon Peter Lemukol envunza okulumba abantu ategezezza nga abasinga bwebatakyakola kale nga kikosezza nto enyingiza mu maka.
Agamba abakulira eby’obulamu ku disitulikiti bali mu kukunganya nsimbi okusomesa abantu ku by’obulamu.