Ebyobulamu
Abaana bakyafiira mu sanya- alipoota
Abaana abali mu 439 beebafa buli mwaka mu distulikiti ye Nebbi.
Bino bifulumiziddwa ekiwayi ekikola ku byobulamu mu disitulikiti nga kikulemberwa Dr Charles Kissa
Dr Kissa agambye nti abaana abasinga bafiira mu sanya nga n’abamu baba tebannatuuka
Kisa agamba nti era abakyala abasinga okuffirwa abaana baba baana abafuna embuto nga bato ate abalala baba bajjamu mbuto
Ono asabye gavumenti okwongera ku muwendo gw’emotoka eziddusa abalwadde ezakazibwaako erya ambulensi okuyamba okuddusa ababa bafunye obuzibu mu malwaliro
Mu distulikiti ye Nebbi yokka era kizuuliddwa nti buli wiiki, abawala mukaaga bajjamu ebuto
Wabula yye omubaka okuva mu kiwayi ky’eby’okuzaala by’abakyala mu minisitule y’ebyobulamu Richard Mugenyi agamba nti abawala abato bangi batya okusaba empeke eziziyiza embuto gyebigweera nga bafunye embuto zebateyagalidde