Ebyobulamu
Okulongoosa kubulamu mu nsi yonna
Bibiri bya kusatu ku bantu bantu mu nsi yonna abeetaga okulongoosebwa tebakituukako olw’obutaba na ssente ate awalala obukugu tebumala
Abazudde bino babitadde mu kitabo Lancet nga kyeyolese nti abanti abali mu bukadde beebafa olw’embeera esobola okuwonyezebwa naye kubanga tebalina ssente oba amalwaliro tegalina bukugu
Mu bingi ebivaako abantu okufa naye nga bitono mwemuli abakyala abalongoosebwa nga bazaala n’abalina okulongoosebwa olw’okubeera n’amayinja mu lubuto
Abasinga ku bano babeera mu mawanga agakyakula okuli ne Uganda.
Okunonyereza okuzze kukolebwa kubadde kutunuulira oba waliwo amawanga galina obukugu obulongoosa nga tegatunuulirangako ku nsonga ya ssente.