Ebyobulamu
Obukyafu bususse
Ekitebe ky’eby’obulamu ku disitulikiti ye Mukono balabudde ku bukyafu obuli luno naddala mu byalo ekitaddewo obweralikirivu abantu okubuuka n’ebirwadde.
Kino kyava ku lutalo lwokulwanyisa omusujja gwa Typhoid olwali ennyo mu bitundu byekibuga neberabira abomubyalo nabo okusomesebwa ku kabi akava mu bukyafu.
Bw’abadde ayogerako ne banamawulire ku kitebe kya disitulikiti eky’ebyobulamu, omumyuka w’akulira ebyobulamu mu disitulikiti Dr. Isaac Ddumba ajjukizza abantu beewale obuligo kuba ebirwadde ng’omusujja gwo mu byenda bikyaliyo.
Ayongeddeko nti endwadde ebitundu 80% ezitwala abantu mu malwaliro negabooga ziba zisobola okwewalibwa ng’abantu bakuuma obuyonjo okuviira ddala mu maka.
Dr. Ddumba ayogedde ku bantu mu gombolola ye Nakisunga mu Lubugumu, Namakwa, Namayuba n’awalala abasusse obukyafu ekiviriddeko ebiddukano mu bantu.
Agambye balina okwekolamu obukiiko obunalondoola eby’obulamu ebisookerwako mu maka.