Ebyobulamu

Bafunye solar

Ali Mivule

May 18th, 2015

No comments

hospitals a mess

Abatuuze mu gombolola ye Nabbaale district ye Mukono abakozesa e Ddwaliro lya gavumenti, Nabalanga Health Centre 2 badukiriddwa ebibiina byobwanakyewa mu kulongoosa embeera ye ddwaliro ebadde embi ennyo.

Children Safe Uganda ne Ssuubi Community Project nga bakulembeddwamu Kiwalabye Habert bawaddeyo Solar zibayambe okugoba enzikiza mu ddwaliro kuba babadde tebalina masanyalaze.

Lino lye ddwaliro lyokka eriri mu gombolola yonna eye Nabbaale wabula nga liri mu mbeera mbi, nugyebuvuddeko sealing yagwamu olwobuwundo obungi obuli mu ddwaliro wabula nebajidabiriza.

Abakozesa e ddwaliro lya Nabalanga Health Centre 2 basiimye ebibiina byobwanakyewa. Abakyala bagamba babaddenga bazalira ku butaala mu kiro, ngera kyabuwaze buli omu okujja nakataala ke.