Ebyobulamu
Ambulensi yakusasulira
Abalwadde baakukwata mu nsawo zaabwe okusasulira emmotoka etambuza abalwadde mu disitulikiti ye Nebbi.
Bano kati baakusasulira amafuta singa wabaawo alina okutwalibwa mu ddwaliro.
Akulira eddwaliro lye Nebbi Dr. Charles Kissa bino abitegezezza awaayo ambulance eno eri abakulira eddwaliro lye Nebbi.
Omu ku bakulira eddwaliro lino Gilbert Onencan agamba minisitule y’ebyobulamu ebawa ensimbi ntono okuddukanya eddwaliro lino kale nga kijja kubeera kizibu okuteeka ezimu ku kugula amafuta.
Agamba minisitule y’ebyobulau ebawa obukadde 131 zokka buli mwaka ensimbi entono ddala.