Ebyobulamu
Etteeka kukufuuwa sigala liriwa
Ekibiina ky’ebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organization kyagaala palamenti eyise etteeka erikoma ku bantu okufuweeta sigala
Etteeka lino lisuubirwa okuyamba okutaasa obulamu bw’abamunywa n’abatamunywa
Omukungu mu kibiina kino Benjamin Sensasi agamba nti sigala ono yoomu ku bisinga okuvaako endwadde ezitasiigibwa
Bino bizze nga Yuganda yeteekateeka okwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’okulwanyisa taaba ku lunaku lwa ssande