Ebyobulamu

Abaali basomera e Makerere bazze mu bulamu

Ali Mivule

May 28th, 2015

No comments

Cancer institute

Abaali basomeddeko ku ttendekero ekkulu e Makerere batunuulidde eddwaliro lya kkookolo nga pulojekiti kati gyebaagala okusondera ensimbi.

Omu ku bakulira abaasomerako ku ttendekero lino Deus Kamunyu Muhwezi, agamba oluvanyuma lw’okusonda nebazimba ekisenge okwetolola ettendekero lino, kati baagala kuyamba ku kuddabirizibwa  kw’eddwliro lya kkookolo okutaasa bannayuganda.

Muhwezi agamba bateekateeka kugula bikozesebwa ebipya, ssaako n’okukubiriza abamu ku baali abayizi b’e Makerere okukolerayo.