Amawulire
Abaana 20 bafudde
Mu India abaana 20 bafudde n’abalala nkuyanja bali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’okulya emmere erimu obutwa.
Bino bigudde mu buvanjuba bwa India mu kitundu ekiyitibwa Bihar mu ssomero lya gavumenti eriri ku kyalo Marakh mu District y’e Saran.
Akaiiko kassiddwawo okunoonyereza mu kyavuddeko embetezi.
Gavumenti etaddewo ensimbi ezibalirirwa mu doola 3,370 okuliyirira amaka omuli abaana abaafudde.
Mu ggwanga lino amassomero gagaba eky’emisana kyabwereere eri abayizi okubasikiriza okusigala mu massomero , naye oluusi ekifo webafumbira obuyonjo buba butono ddala.
Abaana 28 abalwadde baddusiddwa mu ddwaliro eriri okumpi mu kabuga k’e Chapra, abalala mu Patna, oluvanyuma lw’akabenje kano.