Ebyobulamu
aba sigala batanziddwa
Kkooti mu ggwanga lya Canada eriko kkampuni za sigala ssatu z’etanzizza obuwumbi bwa doola 12 lwabutalabula bamunywa nti wabulabe
Abawaaba baali bantu ba bulijjo abategeeza nga bwebatalabako biwandiiko bibalabula nti sigala waabwe yali wa bulabe olwo nabo nebamunywa kyeere
Mu batanziddwa kwekuli kkampuni ya Imperial Tobacco Canada, Rothmans Benson & Hedges ne JTI-MacDonald
KKampuni zino zirayidde okujulira ensalawo ya kkooti gyebagamba nti ssiyabwekanya
Omusango guno gwawaabwa mu mwaka gwa 1998