Ebyobulamu
Poliyo akendedde mu Pakistan
Obulwadde bwa poliyo mu ggwanga lya Pakistan bukendeddde n’ebitundu 70 ku kikumi wakati mu kusika omuguwa ku kawefube w’okugema abaana agenda mu maaso.
Abantu abasinga abaana okukkiriza okubagema, bassibwaako ryaanyi lya Maggye kyokka nga waliwo ekituukiddwako nga mu mwaka guno, abantu 25 bokka beebakakwatibwa ekirwadde kino.
Mu gw’ekkumi omwaka oguwedde, Pakistan yanokolwaayo ng’erimu ku mawanga agasingamu poliyo nga kino kyassibwa ku ntalo ezitaggwa mu ggwanga lino.
Mu kaseera ako abantu abali mu 200 beebalina ekirwadde kino.
Mu Pakistan , abaayo balina endowooza ni okugema kuno kukulembeddwaamu bambega era abalabe b’obuyisiraamu.