Olwali
Kkapa ebafuukidde ekyetere
Mu kibuga Stamford, waliwo abafumbo abaddukidde ku poliisi nebawaaba kkapa yaabwe lwakubalemesa kuyingira mu nyumba
Okusinziira ku sitatimenti gyebakoledde ku poliis, kkapa eno eyimiridde mu mulyango nga buli lwebagezaako okuyingira ng’ezimba n’efuuwa
Omusajja agambye nti mu kugezaako okugiyitako, emukwagudde ku kugulu n’emuluma nga y’ensonga lwaki addukidde ku poliisi.