Ebyobulamu
Eby’obulamu birumira
Ebyobulamu bikyalumira nga waliwo ebitundu ebirina omuzaalisa omu yekka
Ekimu ku bino lye gombolola ye Kaliita esangibwa mu disitulikiti ye Amudat mu Karamoja ng’eno , waliwo omukyala omu azaalisa ku ddwaliro lya Karita health centre III.
Eddwaliro lino likola ku bantu abawerera ddala 8,257 nga ku bano 60 bakyala abazaala buli mwezi.
Omukyala ono amanyiddwa nga Paulina Chepkumun agamba nti ali yekka era oluusi emirimu gimuyitirirako
Omukyala ono awadde ky’okulabirako ekya nga 11th omwezi guno weyafunira abakyala 60 az’okuzaalisa ng’ali bwomu yekka.
Ono agamba nti abakyala abalemererwa wano basindikibwa ku Amudat health center four ate nga tewali ambulensi yadde ng’olugendo ddala luwanvu
Atwala ebyobulamu mu disitulikiti eno Dr. Patrick Sagati agamba nti bakyalina obuzibu bwa maanyi ng’abasawo abazaalisa batono ddala wonna ate nga tebalaba na bapya