Ebyobulamu

Omwana ataafuna ddagala agenze mu kkooti

Omwana ataafuna ddagala agenze mu kkooti

Ali Mivule

June 23rd, 2015

No comments

 

File Photo: Abasawo mu dwaliro lye Entebbe

File Photo: Abasawo mu dwaliro lye Entebbe

Waliwo omuwala ow’emyaka 8 akubye eddwaliro lya Entebbe mu kkooti lwakulemererwa kumuwa ddagala lijanjaba obulwadde obuva kukulumwa embwa

Manuela Azoyo nga ayita mu kibiina ekirafubanira abantu okufuna eby’obulamu obweyagaza ekya center for Health Human Rights and Development agamba nti teyaweebwa bujanjabi ng’alumiddwa embwa kubanga yali talina mitwalo abiri mwetaano.

Okusinziira ku  Ibrahim Nsereko omukungu okuva mu kibiina kino, omuwala ono yasobola kufuna mitwalo 5 gyokka okuva eri muzira kisa ezaali tezimala.

Agamba kati baddukidde mu kkooti enkulu eragire abakulira eddwaliro lino okuwa bannayuganda bonna abalumiddwa embwa eddagala lino mu budde okutaasa obulamu bwabwe.