Ebyobulamu
Obujiini obutippa abakyala bwabulabe
Abasawo bakizudde nti obujiini butippa abakyala busiba ebinywa, n’emisuwa nebuvaako omuntu okusanyalalira ddala.
Mu ggwanga lya Bungereza, waliwo omukyala amaze okukituukako ng’ono akapale kamusaliddwaako busalwa olw’ebinywa ebibadde byesibye
Omukyala ono okukituukako abadde amaze akabanga ng’asitamye okulongoosa enju ye mu ggwanga lya Australia.
Omukyala ono agambye okuddamu okusituka nga takyasobola era akapale bakamusazeeko busazi
Ono bwebamwekebezze , kizuuliddwa nti akapale kabadde kamutippye , ng’omusaayi tegukyatambula.
Abasawo bagambye nti yadde ebigere by’omukyala bibadde bibuguma, emisuwa gibadde ginafuye ng’atandise okusanyalala.