Ebyobulamu
Kkolera mu Adjumani
Waliwo omuntu atwaliddwa mu ddwaliro erya Nyumanzi health center 11 mu disitulikiti ye Adjumani ng’alina obubonero bw’obulwadde obwefananyirizaako obwa kkolera
Ono ategerekese Dau Arok munnansi wa South Sudan ng’abadde mu nkambi ye Nyumanzi oluvanyuma lw’embeera ye okwongera okwonooneka mu ddwaliro gyeyatwaliddwa
Atwala ebyobulamu mu disitulikiti ye Adjumani Ann Adunia agambye nti omusajja ono ajjiddwaako omusaayi okwongera okwekebejjebwa
Omuntu eyasemba okufuna Kkolera mu disitulikiti eno yasemba okulabikako mu mwaka gwa 2006.