Ebyobulamu
Abakyala muzaale nga bukyaali
Abakyaala abazaala nga basusse emyaka 35 balabuddwa.
Abakugu mu by’obulamu bagamba emikisa gy’abakyala abasussa emyaka gino okuzaala abaana abanafu saako n’okubeera n’endwadde endala giri wagulu bw’ogeregeranya ne banaabwe abalina emyaka emimpi wabula nga batuuse okuzaala.
Bakakensa bagamba nti abakyala bano bazaala abaana abanafu ate nga tebaba bagezigezi bulungi nga banaabwe okuva mu ba maama abato.