Ebyobulamu
Buli ddwaliro lifune amasanyalaze- Janat Museveni
Muk’omukulembeze w’eggwanga Janet Museveni asabye minisitule ekola ku by’amasanyalaze okukola enteekateeka enagobererwa okulaba nti buli ddwaliro libaamu amasanyalaze
Janet agambye nti kino kijja kusinga kuyamba abakyala n’abaana abakosebwa buli masanyalaze lwegabula
Bino Janat Museveni abyogedde aggulawo olukiiko lw’okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezikwata ku bakyala n’abaana nga kuno kutegekeddwa ab’ekibiina ky’amawanga amagatte
Minisita akola ku by’amasanyalaze Irene Muloni agambye nti enteekateeka zigenda mu maaso okulaba nti ekya buli ddwaliro okufuna amasanyalaze kituukirira